settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Bayibuli elina omugaso leero?

Okuddamu


Abaebbulaniya 4:12 egamba, “Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.” Newankubadde nga Bayibuli yamala okuwandiikibwa emyaka lukumi mu lwenda egiwedde, okutukkirira kwayo, n’omugaso bisigala tebikyuka n’olwaleero. Bayibuli y’ensobuko y’okubikulilwa yokka eyamazima Katonda gyeyatuwa okutulaga ebimukwatako n’entekateeka ye eri omwana w’omuntu.

Bayibuli elina obubaka bungi obukwata ku nsi obukakasiddwa eby’ekinasaayansi n’okunonyereza. Ebyawandiikibwa ebimu byebino wamanga. Abaleevi 17:11; Omubuulizi 1:6-7; Yobbu 36:27-29; Zabbuli 102:25-27 n’Abakkolosaayi 1:16-17. Bayibuli okuba olugero lwa Katonda olulaga engeri entekateka ya Katonda oy’okununula omwana w’omuntu bweze nga yebikula, abantu bangi baze balagibwa bulungi. Mu kunyonyola, Bayibuli ewa obubaka bungi obukwata ku mbisa z’abantu n’enkola. Ebyo betuyitamu leero bitulaga nti enyinyonyola zino ntuufu mu ngeri gyezinyonyola embera z’abantu okusinga ekitabo kyonna ekyawandiikibwa obantu ekikwata ku mbeera z’abantu. Ebyafaayo bingi ebyawandiikibwa mu Bayibuli bazuuliddwa nga bituufu okusiziira ku bubaka obwandiikibwa mu kaseera akamu ne Bayibuli nga buli wabweru wa Bayibuli. Okunonyereza okwebyafaayo kulaga okukkiriziganya kungi okuli wakati w’ebyo ebyogerwa Bayibuli nebyo ebyawandiikibwa wabweru wa Bayibuli nga byogera ku nsonga zezimu.

Wabula, Bayibuli si kitabo kya Byafaayo, oba kyaneeyisa z’abantu, eba ekiraga ebirowoozo ku sayaansi. Bayibuli yenyinyonyola Katonda gyeyatuwa era kki kyali, byayagala wamu ntekatekaze eri omuntu. Ensonga esinga obukulu ku kubikkulilwa kuno lw’elugero olulaga engeri gyetwayakukana ku Katonda olw’ekibi, n’enkola Katonda gyeyateekawo okuza buggya enkolagana yaffe naye okuyita mu mwana we Yesu Kristu ku musalaaba. Obwetaavu bwaffe okulokolebwa tebukyuka. Era n’okwagala kwa Katonda okuza buggya enkolagana yaffe naye tekukyuka.

Bayibuli elimu obubaka bungi obutuufu era obw’amakulu. Obubaka bwa Bayibuli obukyasinze okuba obukulu era obw;omugaso. Obubaka obukwata ku kukulokolebwa, bukwata ku buli muntu yenna eyali abadde kunsi. Ekigambokya Katonda tekigwerera, tekiwumuzibwa, era tengolwako mutindo. Eby’obuwangwa bukyuka, amateeka gakyuka, emirembe gigya negyigenda, wabula ekigambo kya Katonda kisigala kya mugaso leero nga bwekyali nga kyakawandiikibwa. Si nti buli kyanwandiikibwa kisobola okukozesebwa nga bwekiri leero, wabula buli kyawandiikibwa kirina amazima getusobola era getulina okukozesa mu bulamu bwaffe leero.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Bayibuli elina omugaso leero?
© Copyright Got Questions Ministries