settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda?

Okuddamu


Engeri gyetudamu ekibuuzo kino teraga bulazi ngeri gyetulaba Bayibuli n'omugaso gwayo mu bulamu bwaffe, naye era egya kutukolamu omulimu. Bweba nga Bayibuli kigambo kya Katonda, tulina okugyagala, okugisoma, okugigondera, era n’okugyesiga. Bweba nga Bayibuli kigambo kya Katonda, okugigoba tuba tugobye Katonda mwenyini.

Okuba nga Katonda yatuwa Bayibuli bukakafu era kiraga okwagala kwe gyetuli. Ekigambo okubikkulirwa kitigeeza nti Katonda yabuulira omuntu kki yye kyali era engeri gyetusobola okuba n'enkolagana naye. Bino by'ebintu byetutanditegedde ku Katonda singa mu bwa Katonda bwe teyatwebikkulira okuyita mu Bayibuli. Newankubadde okubikulirwa kwa Katonda okuyita mu Bayibuli kuze kutuweerwa mu bitundu okumala emyaka 1500, kubadengamu buli kintu omuntu kye yetaaga okumanya ku Katonda okusobola okufuna enkolagana naye entuufu. Bweba nga Bayibuli Kigambo kya Katonda, bwebuyinza obwenkomeredde ku nsonga zonna ez'okukkiriza, eddini, n'empisa.

Ekibuuzo kyetulina okwebuuza kiri nti, tutegeera tutya nti Bayibuli Kigambo kya Katonda era nga ssi Kitabo Butabo ekirungi? Kiki ekyenjawulo ku Bayibuli ekijifuula eyenjawulo ku Bitabo by'ediini ebilala ebyali biwandiikiddwa? Waliwo obukakafu bwona obulaga nti Bayibuli kigambo kya Katonda? Bino bye bimu ku Bibuuzo ebirina okutunulirwa bwetuba nga tunakebera bulungi ebigambibwa nti Bayibuli Kigambo kya Katonda ,ekyaluŋŋamizibwa Katonda, era ekimala ensonga zonna ez'okukkiriza ne neyiisa.

Tewasobola kubawo kubusabusa ku mazima Bayibuli getuwa okuba ekigambo kya Katonda. Kino kirabibwa bulungi mwebyo Paulo byeyayogera ku Timosewo. ...... "era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu. Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu; omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi."(1 Timosewo 3:15-17).

Buno bujjulizi bwa wabweru ne munda obulaga Bayibuli okuba Kigambo kya Katonda. Obujjulizi obulala obwomunda bye bintu mu Bayibuli ebijijulira okuba nti Yava eri Katonda. Ekimu ku bujulizi obusooka obwomunda obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda bulagibwa mu bumu bwayo. Newankubadde Bayibuli erina ebitabo nkaga nu mukaaga ebyetongode kubwabyo, ebyawandiikibwa okuva mu Ssemazinga satu, mu nimi Satu ezenjawuulo, nga byawandiikibwa mu banga lya myaka nga 1500, nga byawandiikibwa abawandiisi abasukka mu makumi ana(40) abenjawulo, Bayibuli esigala eri mu bumu okuva wetandikira okutuuka wekoma nga teyekontana. Buno obumu bwanjawulo ku bitabo ebirala byonna era bujjulizi obulaga nti ensibuko ya Bayibuli ya bwa Katonda nga Katonda Aluŋŋamya abantu mungeri ebaletera okuwandiika ebigambo bye byenyini.

Obujjulizi obulala obwomunda obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda bulabibwa mu bunnabbi obuli mu mpapula eza Bayibuli. Bayibuli erimu enkumi n'enkumi ez'obunnabbi obukwatagana ku biseera ebyomumaso eby'ensi okuli ne Isirayeri, okutuuka ku biseera eby'omumaso eby'ebibuga ebimu, okutuuka ku biseera eby'omumaso eby'omuntu, era okutuuka ku kujja kwoyo eyali omununuzi, omulokozi, ssi owa Isirayili yekka wabula, owa buli muntu amutekamu okukkiriza. Okwawukana n’obunnabbi obusangibwa mu bitabo ebirala eby'ediini endala ezenjawulo, oba obwo obwakolebwa Nostradamus (Soma Nosituladamasi), obunanabbi bwa Bayibuli busengekeddwa bulungi era tebulemelerwanga kutukirira. Mu ndagaano enkadde mulimu obunabbi obusuka mu Bisatu (300) obukwata ku Yesu yekka. Tebwalagulwa nti ajja kuzaalibwa, na nyumba ki mwanaava kyoka , wabula era ajja kufa n'okuzuukira azuukire ku lunaku olw'okusatu. Tewali magezi ga muntu gayinza kunyonyola okutukirizibwa kw'obunnabbi okugyako okuba bwaka okuva eri Katonda. Tewali kitabo kya ddiini ndala yonna kirimu kika kya bunnabbi Bayibuli bwelina.

Obujjulizi obulala nga buno bwewabweru obulaga nti Bayibuli ddala Kigambo kyakatonda gemazima g'abawandiisi. Nga bwetwagambye emabega gyetwatandikidde, Katonda yakozesa abantu abenjawulo okuwandiika ebigambo bye ku lwaffe. Mu kusoma ku bulamu bw'abasajja abo, tewali nsonga yonga nungi esobola okuturetera okukkiriza nti tebali berufu era abamazima. Bwetukebera obulamu bwabwe tulaba nga amazima bali betegefu okufa era okufa okw'obulumi, olwebyo byebali bakiririzamu, era twongera okukitegeera nti abasajja bano bali bakkiriza nti Katonda yayogedde okuyita mu bbo. Abasajja abwandiika endagaano empya n'abakkiriza abalala (1 Abakolinso 15:6), bamanya amazima agaali mububaka bwabwe kubanga balaba Yesu era bamala naye ebbanga. Ng'amaze okuzzukira okuva mu baffu. Okukyusiibwa okw'okulaba Yesu eyazuukira kwabakolamu omulimu omunene mu bbo. Baava mu kwekweka olw'okutya ne bewaayo okufa olw'obubaka Katonda byeyali ababikkulidde. Obulamu bwabwe n'okufa bujjulizi mu mazima nti Bayibuli ddala kigambo kya Katonda.

Obujjulizi obusembayo obulaga nti Bayibuli kigambo kya Katonda kwekuba nti Bayibuli tesobola kusanyizibwawo. Olw'omugaso gwayo n'okutugamba nti Kigambo kya Katonda , Bayibuli esanze okulwanyisibwa okwamanyi n'okugezaako okugisanyawo okusinga ebitabo ebirala byona mu ma kuŋŋaniro. Mu biseera by'abaruumi nga Diocletian (Soma Diyokuletiyani), okuyita mu banakyemalira okutuuka ku batakkiriza(Ethiests) Katonda nabalowooza nti tewali bisoboka kumanyika ku Katonda(Agnostics), Bayibuli eyise era abaddewo okuyita mu mirembe gyona era kakano ky'ekitabo ekikyasinze okufulumizibwa munsi yonna.

Okuyita mu biro byona, ababusabusa balaba Bayibuli ng'ekitabo ekifanana ng'eky'engero za Wakayima ne Wango, naye abasima ebyobugaga bagamba nti erina ebyafaayo. Abalabe balwanyisiza ensomesa yakyo nga bagamba nti yadda, tesobola kukola era yaggwaako., naye ensomesa yakyo eyempisa, n'ebyamateeka ekoze omulimu omunene eri abantu, n'eby'obuwangwa munsi yonna. Bayibuli ekyalwanyisibwa ebyasaayaansi, endowooza z'abantu, ebiwayi bye byobufuzi, kyoka nesigala nga yamazima, ng’eri kumulamwa lero nga bweyali ngayakawandiikibwa. Kyekitabo ekikyusiza amawanga n'eby'obuwangwa okumala emyaka enkimi Biri (2000) egiyise. Abalabe ne bwebeyongera okugilumba, okugisanyawo, nabwo bujjulizi ku mazima nti ddala Bayibuli kigambo kya katonda era kikumibwa ye yenyini. Tekirina kutwewuunyisa nti, Bayibuli nebwelumbibwa etya, ejja kuvaayo nga tekyusibwa era nga nnamba. Nekilala Yesu yagamba,nti Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono."(Makko 13:31). Ngatumaze okulaba obujjulizi obwo bwonna, omuntu asobola okukiriza ewatali kubusabusa nti dala Bayibuli kigambo kya Katonda.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda?
© Copyright Got Questions Ministries