settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera kiki ku bataata Abakristaayo?

Okuddamu


Ekiragiro ekisinga obukulu kye kino: “era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.”(Ekyamateeka 6:5). Bwetuddayo ku lunyiriri olw’okubiri, tusoma: “otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye nkulagira ggwe n'omwana wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi.” Bwetugoberera olunyiriri 5 tusome, “Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga:” (Olunyirir 6-7)

Ebyafaayo bya Yisirayeri biraga nti taata yalina okunyiikira okulagira abaana mu makubo ne mu bigambo bya Mukama kulw’okukula kwabwe mu mwoyo n’obulungi bwabwe. Taata eyali agondera amateeka ga Katonda yakolanga ekyo. Kino kituleeta eri Engero 22:6, “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” “Okumanyiiza” kitegeeza kusonga ku biragiro taata ne maama byebawa omwana okusookera ddala; katugambe okusoma okusooka. Okutendekebwa kuno kukolebwa okulaga obulungi omwana empisa z’obulamu zebetaagisa okutambuliramu. Okutandika obulamu bw’omwana mu ngeri bweti kikulu nnyo.

Abaefeeso 6:4 ewumbawumba ebiragiro bya taata, nga ewa biki byebalina obutakola ne byebaalina okukola. “Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” Ekitundu ekiraga byebatalina kukola kiraga kiraga nti taata kumala baana be manyi nga abakuliza mu bukaawu, obutali bwenkanya, n’okulaga obuyinza obutasaana. Obukaawu, okweyisa mu ngeri etasaana eri omwana kigenda kubakulizaamu bubi bwoka mu mitima. Kino kikolebwa mu mwoyo mubi era mu nkola embi—obukaawo, okukola ebintu ebitasaana, obusungu, omukono ogw’ekyuma, okubetaagisa okukola ebintu ebikaawu, okubagaana okukola ebintu ebimu nga tolina nsonga, n’okuba nakyemalira. Ebintu ebibi bwebityo bwebikolebwa abaana, bireetera abaana okukula nga okwagala kwabwe kuffu, era kikendeeza okwagala kwabwe okukola obutuukirivu, era nekibaretera okulowooza nti tebasobola kusanyusa bazadde babwe Omuzadde omugezi anoonya abaana okuyiga okugonda nga bayita mu kwagala ne mu bugonvu.

Ekitundu mu Abaefeeso 6:4 ekiraga byebalina okukola kiraga mu ngeri eyawamu biki byebalina okukola—mubasomese, mubakuza, mukuze empisa zabwe mu bintu byonna eby’obulamu okuyita mu kulabula kwa Katonda. Kuno kwekusomesa abaana era n’okugunjura abaana. Ekigambo “okulabula” kitwaliramu okujukkiza abaana ensobi zabwe (mu ngeri y’okubazimba) n’ebyebalina okukola (obuvunanyizibwa bwabwe).

Taata omukristaayo kikozesebwa mu ngalo za Katonda. Okugunjula era okusomesa abaana kulina okuba nga Katonda bwakwagala era nga bwakukola obuinza bwe okusobola okulabibwa era okunywera mu bwongo, mu mutima n’emundowooza z’abaana. Taata talina kweraga nga obuyinza obusembayo obuvaako amazima na kki ekirina okukolebwa. Okufuula Katonda okuba omusomesa era omufuzi kwoka era nga ku buyinza bwe buli kimu kwekikolebwa kwekusobola okuleerera ekigendererwa ky’okusomesa okutuukibwako.

Martin Luther (Soma Matini Luuza) yagamba “teeka ekibala ekya appo kumpi ne kiboko okuwa omwana singa aba akoze bulungi” Okugunjula kulina okukolebwa mu bwegendereza obungi, okutendekebwa okungi wamu n’okusaba obutaleka. Okubonereza, okugunjula n’okwebuuza ku Kigambo kya Katonda, ky’ekinyusi ky’okunenya. Ebiragiro biva eri Katonda, bitegerebwa okuyita mu bintu Omukristaayo byayitamu mu bulamu, era abazadde bebayamba omwana okusobola okubiteeka mu nkola. Okukangavula mu ngeri y’Ekristaayo kwetagiisa okusobola okuyamba abaana okukula nga bawa Katonda ekitiibwa, nga beteeka mu obuyinza bwa bazadde babwe ekitiibwa, okumanya enkola z’Ekristaayo, n’okuba n’obwegendereza.

“Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;” (2 Timosewo 3:16-17). Obuvunanyizibwa bwa taata kwekusomesa abaana ebyawandiikibwa. Enkola n’ebyalina okukozesa okusomesa abaana ebyawandiikibwa esobola okwawukana. Nga ayimiridde mu bwesigwa mu kubeera eky’okulabirako, ebyo abaana bye basoma bigenda kubateeka mu kifo ekirungi okuyita mu bulamu bwabwe bwonna kyonna kyebakola oba yonna gyebalaga.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera kiki ku bataata Abakristaayo?
© Copyright Got Questions Ministries