settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera ki ku bamalayika?

Okuddamu


Bamayika myoyo egilina amagezi, ebilowoozo, n’okusalawo. Kino kituufu eri bamalayika abalungi n’ababi (zi dayimooni). Bamalayika balina amagezi( Matayo 8:29; 2Abakkolinso 11:3; 1 Peteero 1:12), balaga ekisaasaazi (banyiga, basanyuka, banakuwala) (Lukka 2:13; Yakobo 2;19; Okubikkulirwa 12:17) era balina basalawo ( Lukka 8:28-31, 2 Timoseewo 2:26; Yudda 6) Bamalika myoyo (Abaebbulaniya 1:14), era tebalina mibiri gyadala. Newankubadde myoyo, balina enkula.

Kubanga batondebwa, amagezi gabwe galina ekkomo. Kino kitegeeza nti tebamanyi buli kintu nga Katonda. (Matayo 24:36). Wabula, balabibwa nga balina amagezi agasinga ag’abantu, ekiva ku nsonga satu. Okusooka, bamalika batondebwa ng’ebitonde ebili ebikulu okusinga omuntu. N’olwekyo, bilina amagezi agasinga ag’abantu. Eky’okubiri, bamalayika basoma ekigambo kya Katonda okusinga omuntu era bafuna amagezi okuva mu kyo (Yakobo 2:19; Okubikkulilwa 12:12) Eky’okusatu, bamalayika bafna amagezi okuyita mu kwetegereza ebikolwa by’abantu. Okwawukana ku bantu, bamalayika tebalina kwetegereza byayita oba byafaayo, kubanga babiyitamu. N’olwekyo, bamanyi engeri abalala gyebasalawo era byebakola mu mbeera ez’enjawulo era basobola okutebeereza n’obukugu obwawagulu engeri gyetunasalawo oba byetunakola mu zezimu.

Newankubadde nga bamalayika balika okusalawo, ng’ebitonde ebirala, bali wansi w’okwagala kwa Katonda. Bamalayika abalungi basindikibwa okuyamba abakkiriza (Abaebbulaniya 1:14). Wamanga byebimu ku Bayibuli by’egamba bamalayika byebakola:

Batendereza Katonda (Zabbuli 148: 1-2; Isaaya 6:3). Basinza Katonda (Abaebbulaniya 1:6; Okubikkulirwa 5:8-13). Basanyukira ebyo Katonda byakola (Yobbu 38: 6-7). Bawereza Katonda (Zabbuli 103:20; Okubikkulirwa 22:9). Balabika mu maaso ga Katonda (Yobu 1:6; 2:1). Bikozesebwa bya musango gwa Katonda (Okubikulirwa 7:1; 8:2). Baleeta okuddamu kwa Katonda abantu bwebasaba (Ebikolwa 12:5-10). Bayamba okuwangula emyoyo eri Kristu. (Ebikolwa 8:26; 10:3). Balaba entabula, enkola, n’okuboonaboona kw’Abakristaayo (1 Abakkolinso 4:9; 11:10; Abaefeeso 3;10; 1 Peteero 1:12). Bazaamu amanyi mu biseera ebyakataabaga (Ebikolwa 27:23-24). Bafa ku batukirivu mu kaseera ak’okufa (Lukka 16:22).

Bamalayika banjawulo nnyo ku bantu. Abantu tebafuuka bamalayika bwebafa. Bamalayika nabo tebafuuka era tebaaliko bantu. Katonda yatonda Bamalayika nga bweyatonda abantu. Bayibuli telina wegamba nti bamalayika batondebwa mu kifaananyi era mu mbeera za Katonda nga abantu. (Oluberyeberye 1:26). Bamalayika myoyo, egisobola okufuna emibiri mu biseera ebimu. Abantu abantu abalina emibiri, wabula abalina omwoyo. Ekisinga obukulu kyetusobola okuyiga ku bamalayika abatukuvu, kwekugondera ebiragiro bya Katonda okwekika ekyawagulu.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera ki ku bamalayika?
© Copyright Got Questions Ministries