settings icon
share icon
Ekibuuzo

Bayibuli eyogera ki kuba maama Omukristaayo?

Okuddamu


Okuba maama mulimu mukulu nnyo mukama gwasalawo okuwa abakyala bangi. Maama Omukristaayo alagibwa okwagala abaana be (Tito 2:4-5), obutaleeta kivumo eri Mukama era Omulokozi erinnya ly’oyo eryateekebwa mu ba maama Abakristaayo.

Abaana kirabo okuva eri Katonda (Zabbuli 127:3-5). Mu Tito 2:4, ekigambo Philoteknos (soma filotekinoosi) kirabika nga kyogera ku ba maama nga bagala abaana babwe. Ekigambo kino kiraga “okwagala okwenjawulo okwa maama.” Ekirowoozo ekiva mu kigambo kino kyekyokulabirira abaana, okubakuza, okubawambatiira, okufa ku byetaago byabwe, era okufuuka mukwano gwa buli mwana ng’ekirabi eky’enjawulo okuva eri Katonda..

Ebintu ebyenjawulo biragibwa ba maama Abakristaayo mu kigambo kya Katonda:

Okubeerawo – kumakya, mu tuntu, n’ekiro (Ekyamateeka 6:6-7)

Okwenyigira mu bulamu bwabwe – okwogera nabo, okubaganya ebirowoozo, n’okutambuza obulamu nabo (Abaefeeso 6:4)

Okubasomesa – Ebyawandiikibwa n’entegera y’ensi okusinziira ku Bayibuli ( Zabbuli 78:5-6; Ekyamateeka 4:10; Abaefeeso 6:4)

Okubatendeka – Okuyamba omwana okumanya obusobozi bwe, era okuzuula amaanyi ge wegali (Engero 22:6) era n’ebirabo bye eby’omwoyo (Abaruumi 12:3-8 ne 1 Abakkolinso 12).

Okugunjula – Okusomesa omwana okutya Katonda, maama nga ekikola obutaleka, mu kwagala era mu manyi (Abaefeeso 6:4; Abaebbulaniya 12:5-11; Engero 13:24; 19:18; 22:15; 23:13-14; 29:15-17)

Okukuza – Okuteekawo embeera omwana mwasobolera okuwulirizibwa, wasobolera obutatya kulemererwa oba kugwa, wakkirizibwa, wayagalibwa awatatali bukwakkulizo bwonna (Tito 2:4; 2 Timoseewo 1:7; Abaefeeso 4:29-32; 5:1-2; Abaggalatiya 5:22; 1 Peter 3:8-9)

Okubayigiriza obwenkanya – okukola ekyo kyoyogedde, okuba eky’okulabirako omwana kwasobola okuyigirako “okutambulira mu bulamu obw’obwakatonda kyebutegeeza (Ekyamateeka 4:9; 1:7; 23 ;Engero 10:9; 11:3; Zabbuli 37:18, 37).

Bayibuli tegambako nti buli mukyala yenna alina okuba maama. Wabula egamba nti abo Mukama bawadde omukisa okuba ba maama balina okutwaala obuvuunanyizibwa buno ng’ekintu ekikulu. Ba maama balina obuvuunanyizibwa obw’enjawulo era obukulu mu bulamu bw’abaana babwe. Okuba maama ssi mulimu bulimu oba ekkattala eritali dungi. Nga ba maama bwe betika omwana ng’ali mu lubuto, era nga maama bwaliisa omwana era bwamulabirira nga akyali muto, era ba maama balina okusigala nga bakola omulimu gwabwe mu baana babwe nga bavubuka, tebanafumbirwa, oba nga bakuze era nga balina abaana babwe. Newankubadde nga omulimu gw’abamaama gusobola okukyuka era okukula, okwagala, okulabirira, era okuzaamu abaana amanyi tekulina kulekeraawo.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Bayibuli eyogera ki kuba maama Omukristaayo?
© Copyright Got Questions Ministries