settings icon
share icon
Ekibuuzo

Ddala amataba ga Nuuwa gaali ga nsi yonna oba ga kitundu?

Okuddamu


Ebyawandiikibibwa ebyogera ku mataba biraga bulungi nti amataba gaali ga nsi yonna. Oluberyeberye 7:11 eraga bulungi nti “ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna, ez'omu nnyanja ennene, n'ebituli eby'omu ggulu ne bigguka.” Oluberyeberye 1:6-7 be 2:6 egamba nti ensi ng’amataba eganabawo yali ya njawulo ku nsi nsi gyetulimu leero. Okusinziira ku bino n’ebintu ebirala Bayibuli byenyonyola, kirowoozebwa nti ensi mu kaseera akamu yali ebikkidwako olububi lw’amazi. Olububi luno lusobola okuba nga lwali mu ngeri ya lufu, oba lusobola okuba nga lwali ng’enkulungo za balaafu, eziringa eziri ku enkulungo ya Kisuule. Kino, bw’okigatta ku lububi lwa amazzi agali wansi wensi, bwegasumululwa eri ensi (Oluberyeberye 2:9)gasobola okuba nga gavaamu amataba agajjula mu nsi yonna.

Ekyawandiikibwa ekiraga ekigera ky’amataba kiri mu Oluberyeberye 7:19-23. Ku nsonga y’amazzi “Amazzi ne gayinza nnyo ku nsi; ensozi zonna empanvu ne zisaanikirwa ezaali wansi w'eggulu lyonna. Emikono kkumi n'etaano okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisaanikirwa. Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa. N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.”

Mu kyawandiikibwa ekyo wagulu, tetusanga busanzi bigambo “byonna, zonna” nga bikozesebwa emirundi egiddiriŋŋana wabula tusanga “; ensozi zonna empanvu ne zisaanikirwa ezaali wansi w'eggulu lyonna, “Emikono kkumi n'etaano okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisaanikirwa. Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa.” Okunyonyola kuno kulaga amataba nga gabikka ensi yonna. Era, singa amataba gali mu kitundu kimu, lwaki Katonda yalagira Nuuwa okuzimba ekyombo mu kukifo ky’okugoba ebisolo okuva mu kitundu ekyo? Era lwaki Katonda yalagira Nuuwa okuzimba ekyombo ekinene obulungi okugyamu ebisolo byonna ebiri ku nsi? Olw’okubanga amataba gaali ga nsi yonna, wali wetaagisa ekyombo okuzimbibwa.

Petero naye anyonyola amataba okuba nti gajula ensi yonna mu 2 Peetero 3:6-7, bwagamba, “ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira: naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.” Mu nyiriri zino, Peetero agerageranya okuja kw’omusango gw’amataba mu biseera bya Nuuwa agaali “ag’ensi” nagamba nti ensi eyaliwo ebiseera ebyo yajjula amataba. Abawandiisi ba Bayibuli bangi bakkiriza ebyafaayo by’amataba agajjula ensi yonna (Isaaya 54:9; 1 Peetero 3:20; 2 Peetero 2:5; Abaebbulaniya 11:7). Ekisembayo, Mukama waffe Yesu Kristu yakkiriza amataba agajjula ensi era yakikozesa ng’ekika ky’okusanyizibwa kw’ensi bwakomawo (Matayo 24: 37-39; Lukka 17:26-27).

Waliwo obujuizi bungi wabweru wa Bayibuli obusonga ku mataba agajjula ensi. Waliwo ebiffo binene ebirimu ebyasigalira era entaana ebyasangibwa ku buli semazinga era nebirala ebiraga ebimera ebingi ennyo ebyasanyizibwaawo omulundi gumu. Ebintu ebirina okuba mu zi ssemayanja nabyo byasangibwa ku nsonzi waggulu okwetolora ensi. Obuwangwa okwetolola yonna bulina engero ezikwata ku mataba. Bino byonna nebirala buzirizi eri amataba agajjula enzi yonna.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala amataba ga Nuuwa gaali ga nsi yonna oba ga kitundu?
© Copyright Got Questions Ministries