settings icon
share icon
Ekibuuzo

Makulu kki agali mu bulamu?

Okuddamu


Makulu kki agali mu bulamu? Nfuna ntya, ensonga, okutukirizibwa n'okukkusibwa mu bulamu? Omuntu afuna atya ekintu ekiberera mu bulamu? Abantu bangi tebalekerangaawo kwebuuza bibuuzo bino ebikulu. Nga wayise emyaka batunula emabega ne bebuuza lwaki enkolagana zaabwe n'abantu abalala zayonooneka, era lwaki bawulira bakalu newankubadde nga balabikanga abafunye buli kimu kyebayagala okufuna. Omuddusi eyali atuuse ku ntikko ye misinde yabuziibwa kiki omuntu kyeyandimubulidde nga yakatandika okuzannya akazannyo k'emisinde. Yaddamu, "Kale singa omuntu yambulira nti bwotuuka ku ntikko, Tewali kiriyo". Ebilubirilwa bingi bilaga obukalu bwabyo ngomaze okwonoona emyaka mingi ng'obigoba.

Mu mbeera zaffe ez’obuntu, abantu babulwa amakulu g'obulamu. Bagoba ebintu bingi nga basuubira nti bajja kubisangamu amakulu era n’omugaso gw'obulamu. Ebimu ku bintu abantu bye bagoba mulimu bizinensi ennungi, Obugagga, Emikwano emirungi, okunyumya omukwano, ekwesanyusa, n'okukolera abantu ebintu ebirungi. Abantu bajjulidde nti wadde nga batukkiriza ebirubililwa bwabye eby'okugagawala, n'okwesanyusa, wasigalayo munda emuwaatwa oba ekituli ekitajjuziddwa, bawulira obukalu munda mubbo nga tewali kisobola kubajjuza.

Omuwandiisi w'ekitabo ky'Omubuulizi yanonya amakulu mu bintu bingi bye yanoonya. Anyonyola obukalu bweyawulira munda mu ye: Obutalimu! “Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna! . . . obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. (Omubuulizi 1:2). Kabaka Sulemani, omuwandiisi w'ekitabo ky'Omubuulizi yalina obugaga obutabalika, amagezi agataalina muntu yenna mu biseera ebyo wadde mu binno, abakazi enkumi n'enkumi, embiri, enimiro ezakwaasa obwa’kabaka obulala obuggya, emmere n'omwenge omulungi, nabuli kyakwesanyusa. Yagamba olunaku lumu nti buli kintu omutima gwe kyegwayagala, yakinoonya (Omubuulizi 2:10), kyoka nagattagatta obulamu "wansi we njuba"—obulamu bweyaberamu gyoli nti buli kimu mu bulamu kyekyo kyetulaba n'amaaso era kyetuyitamu—butaliimu obusinga obutaliimu. Kki ekinyonyola obwerere oba obukalu buno? Katonda yatutonda olw'ekyo ekisinga ebyo byetuyitamu kakati olwalero. Sulemnai yayogera ku Katonda,“era yateeka ensi mu mutima gwabwe” (Omubuulizi 3:11). Mu mitima gyaffe tumanyi nti byetuyitamu "wano kati" sibyebyoka ebili mu bulamu.

Mu kitabo ky'Oluberyeberye, tusaanga ekitulaga amakulu g’obulamu mu kuba nti Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye (Oluberyeberye 1:26). Kitegeeza nti tusinga ebintu ebirala byonna okufaanana Katonda. Era tuzuula nti omuntu nga tanagwa era ng'ekolimo ky'ekibi tekinaba ku nsi, bino byali bituufu;

1. Katonda yatonda omuntu nga kitonde ekibeera n’enkolagana (Oluberyeberye 2:18-25).

2. Katonda yawa omuntu emirimu egy'okukola.(Oluberyeberye 2:15);

3. Katonda yakuŋŋananga n'omuntu.(Oluberyeberye 3:8);

4. Katonda yawa omuntu okufuga ebitonde ebirala byonna.(Oluberyeberye 1:26)

Obukakafu buno bulina ensonga enkulu ezikwata ku makulu g'obulamu. Katonda Yakigenderera omuntu kuba n'obulamu obujjude, naye embeera (naddala ekwata ku muntu okubeera wamu ne Katonda) yayononebwa olw'okugwa kw'omuntu mu kibi n'ekikolimo ekyatuuka ku nsi (Oluberyeberye 3).

Ekitabo eky'Okubikkulirwa kiraga nti Katonda afaayo ku kyokutereza amakulu g'obulamu gyetuli. Katonda atulaga nti ajja kusanyaawo obutonde bwona obuliwo, era atonde ensi empya n'egulu elipya. Aggya kuza buggya enkolagana wakati we n'omuntu mu bujjuvu eyabo abanunulibwa, wabula abatalinunulibwa baggya kusalibwa omusango era basulibwe mu nyanja ey'omuliro(Okubikkulirwa 20:11-15). Ekikolimo ky'ekibi kigya kugyibwawo, tewaggya kubaawo kibi nate, enaku, endwadde, okuffa, obulumi (Okubikkulirwa 21:4). Katonda aggya kuddamu abere n'omwana w'omuntu era baggya kuba baana be (Okubikkulirwa 21:7). Awo tuggya kubeera bumu, buli kimu kiggya kudawo nga bwekyali: Katonda ya tutonda okuba wamu naye; omuntu nayonoona, mukwonoona yamenya enkolagana ye ne Katonda. Katonda azza buggya enkolagana eyo mu bulamba bwayo nga bweyalina okubeera emirembe ne mirembe. Okuyita mu bulamu ng'ofunye buli kimu kyewayagala okufuna naye nomaliriza ng'ofudde nga tolina nkolagana ne Katonda kiba kya kabenje. Wabula Katonda takubye bukubi kkubo elisobozesa okwesiima kuno (Luka 23:43) naye era atuletera okukutta obulamu kunsi era, okuba n'obulamu obulina amakulu. Okwesiima kuno okw’emirembe egitagwawo ‘n'egulu kunsi” bifunibwa bitya?

Obulamu obuziddwa obugya mu Yesu Kristo kyebutegeza

Amukulu agaddala ag'obulamu bwetulina kakano nemu bulamu obuttagwawo, tugasanga mu kuddizibwa obuggya okwenkolagana yaffe ne Katonda. Okuddizibwa obuggya kunno kusoboka okuyita mu mwana wa Katonda Yesu Kristu atutabaganya ne Katonda( Abaruumi 5:10, Ebikolwa 4:12; Yokaana 1:12, 14:6). Obulokozi n'obulamu obutagwawo bufunibwa singa tuteka okukkiriza kwaffe mu Yesu Kristu ng'omulokozi waffe. Okukkiriza okwo kufunibwa olw'ekisa, okuyita mu kukkiriza, Kristu atufuulabitonde ebiggya, era netutandika okukula nga tumusemberera era nga tuyiga okumwesiga.

Katonda ayagala tutegere amakulu g'obulamu. Yesu yagamba "Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. (Yokaana 10:10). Obulamu obungi bwe bulamu obutaliimu kusagasagana.

Amakulu g'obulamu, gazingiddwa mu kitiibwa kya Katonda. Nga Katonda ayita abalonde, Katonda agamba,"...nze namubumba;"(Isaaya 43:7). Katonda yatutonda lwa Kitiibwa kye. Bwetuwaanyisa ekitiibwa kya Katonda mu kyaffe, tusubwa amakulu g'obulamu. "Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka yeetikke omusalaba gwe, angoberere. Kubanga buli ayagaIa okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba."(Matayo 16:24-25). "Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba."(Zabbuli 37:4)

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Makulu kki agali mu bulamu?
© Copyright Got Questions Ministries