settings icon
share icon
Ekibuuzo

Abakristaayo baloowozaaki ku Belaguza?

Okuddamu


Bayibuli ewakanya okweraguza, n’obusamize, n’obulogo (Abaleevi 20:27; Ekyamateeka 18:10-13). Abatunuulira obubonero bw’omusana, abakyanga bu kaadi obulaguzi, abatunuulira obubonero bw’emunyenye n’omwezi, abasoma ebibatu, nabo bagwa mu tuluba ly’elimu. Enkola zino zesigama ku ndowooza nti waliwo bakatonda, emyoyo oba emizimu gyabaafa egisobola okulabula oba okuwabula omuntu. Ba katonda bano, oba emyoyo gino ziba zi dayimooni (2 Abakkolinso 11:14-15). Bayibuli tetuwa nsonga yonna kukkiriza nti abantu baffe basobola okubaako byebatubuulira. Bwebaba nga baali bakkiriza, balina okuba nga bali gulu banyumirwa ekifo ekisinga okuba ekirungi wamu ne Katonda. Bwebaba nga tebali bakkiriza, bali mu geyeena, babonaabona olw’okugaana okwagala kwa Katonda era okumujemeera.

Bwekiba nga abagalwa baffe tebasobola kutuwa bubaka bwonna, abasamize, abalaguzi oba abasoma obubonero bagyawa obubaka obutuufu bwebutwo? Abalaguzi balabiddwa emirundi mingi ba bafere. Kilabise emirundi mingi nga abalaguzi basobola okufuna ebintu ebiwerako ebikwata ku muntu okuyita mu ngeri enyangu ennyo. Ebiseera ebimu, bakozesa essimu oba okunnonya ku mutumbagano, omulaguzi asobola okufuna amanya, omuntu gyabeera, olunaku lwewzaalibwa, olunaku lwewafumbirwa, abantu b’enjuuyo, n’ebintu ebirala bingi. Wabula tekyegaanika nti abalahuzi bamanyi ebintu ebitali byangu kumanyika. Ebintu bino babigyawa? Babigya wa sitaani ba zi dayimooni. “So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana. Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.” (2 Abakkolinso 11:14-15). Ebikolwa 16:16-18 eraga omugaguzi eyasobola okubuulira Pawulo ebigenda okumutuukako okutuusa Pawulo bweyamugobako omuzimu ogwamuliko.

Sitaani yefuula okuba omwekisa era ayamba. Alabika ng’omuntu omulungi. Sitaani n’ezidayimooni ze bawa omulaguzi obubaka obukwata ku muntu okusobola okukwata omuntu oyo okwesiga obulaguzi ekintu Katonda kyakyaawa. Okusooka kirabika nga ekintu ekitono ekitalina kabi, wabula aantu besanga nga tebakyasobola kuva ku bulaguzi era mu butamanya, nebakkiriza Sitaani okufuga obulamu bwabwe. Petero agamba, “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaaly” (1 Petero 5:8). Olumu, balaguzi nabo balimbibwa, nga tebamanyi nsibuko y’abubaka bwebafuna. Kyonna kyekiri, oba yonna gyebajja obubaka, tewali kintu kikwata ku busamiza, bulaguzi, oba bulogo kirungi okuyitamu okufuna obubaka. Katonda ayagala tutegeere tutya okwagala kwe eri obulamu bwaffe?, Enteekateeka ya Katonda nyangu, kyokka nga yamaanyi ate ekola. Kwekusoma Bayibuli (2 Timoseewo 3:16-17), n’okusaba amagezi (Yakoo 1:5).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Abakristaayo baloowozaaki ku Belaguza?
© Copyright Got Questions Ministries