settings icon
share icon
Ekibuuzo

Yesu Kristu Yaani?

Okuddamu


Obutafananako kibuuzo “Ddala Katonda Gyali? Abantu batono ababuuza oba Yesu Kristu yaliyo. Kikkirizibwa kumpi buliwamu nnti Yesu yali muntu eyatambula ensi mu Yisirayeri emyaka 2000 egyayiita. Okuwakannya ebirowoozo kutandika ssinga ensonga y'enfaanana ya Yesu entuffu eletebwa muddiro. Kumpi buli ddini esomesa nti Yesu yali Nabbi era omusomesa, oba omusajja omulungi, oba omusajja amanyi Katonda.

Omuwandiisi C.S Lewis, mu Kitabo kye, Mere Christianity (soma Bulokole bulokole) awandiika bino wamanga "Ngezaako wano okulemesa omuntu yenna okwogera oky'obusiiru abantu kye bogera eri Yye [Yesu Kristu]. "'Netegesse okukkiriza Yesu ngo'musomesa ow'empissa omulungi, naye tokkiriza byeyeyogerako nti Katonda. Ekyo ky'ekintu ekimu kyetuttalina kwogera'. Omuntu obuntu akeera n'ayogera ebintu Yesu bye yayogera, taba Musomesa wa mpisa mulungi. Abeera mulalu ngaali ku daala lyelimu n'oyo agamba abantu nti yye Jji ffumbe, oba oyo omuntu aba Sitaani owomu geyeena. Olina okusalawo ku bibiri; omuntu ono (Yesu) mwana wa Katonda, oba Mulalu, oba ekisiinga ku bulalu. Bwaba mulalu, oyinza okumusirisa olw'obusiru, oyinza okumuwandulira amalusu nomutta nga Dayimooni; oba oyinza okugwa ku bigere bye nomuyita Mukama era Katonda. Naye tuleme kumussa wansi mu bigambo ebitalimu eby'okubeera omusomesa omulungi. Teyatulekera mukisa ogwo. Era teyakyaagala".

Kakati Yesu Yeyita ani? Bayibuli emuyita ani? Okusooka katutunulire ebigambo bya Yesu mu Yokaana 10:30, " Nze ne Kitaange tuli omu" Bwotunulira ebigambo ebyo, okusooka tebirabika nga Yesu eyali yeyita Katonda. Naye Tunuulira abayudaaya engeri gyebabitwalamu."Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.(Yokaana 10:33). Abayudaaya bawuulira nnga Yesu eyeyita Katonda. Munyiriri eziddako, Yesu talina nsobi gyatereeza. Tabagamba nnti " Sinnabagambako nti ndi Katonda." Kitegeeza nti Yesu yali ategeeza nti Katonda, bweyagamba nti, "Nze ne Kitaange tuli Omu"(Yokaana 10:30). Yokaana 8:58 kyakulabirako kyakubiri. "Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi." Era abayudaaya baddamu na kwaata Mayinja kwagala kumukuba.(Yokaana 8:59) Yesu okwogera engeri yye nti "Nze" oba "Nali" ekozesebwa butereevu okutegeeza erinya lya Katonda.(Okuva 3:14). Lwaki abayudaaya ate baayagala okukuba Yesu amayinja okujjako nti bakkiriza nti avoola okweyita oba okwefuula Katonda?

Yokaana 1:1 agaamba, "Ekigambo n'aba Katonda." Yokaana 1:14 egamba " Kigambo n'afuuka omubiri," Kino kiraga butereevu nti Yesu Katonda ayambadde omubiri. Tomasi, omuyigirizwa ayogera eri Yesu nti, "Mukama era Katonda"(Yokaana 20:28). Yesu talina nsobi gy'amutereeza. Omutume Pawulo amwogerako nga "Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;" Omutume Petero naye ayogera ky'ekimu..."Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo;"(2 Petero 1:1). Katonda Kitaffe naye ajjulira ku Yesu." naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo." (Abaebbulaniya 1:8). Endagaano enkadde elagula ku Yesu nelangirira obwa Katonda bwe. "Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe."(Isaaya 9:6).

N'olw'ekyo, nga omuwandiisi C.S Lewis, bwawoza. okukkiriza Yesu okuba omusomesa omulungi kyokka tekiriiyo!. Yesu mubulambulukuffu nga teyeegaana yeyita Katonda. Bwaba ssi Katonda, olwo aba mulimba, era taba Nabbi, omusomesa omulungi, oba omusajja amanyi Katonda. Mu kugezaako okunyonyola ebigambo bya Yesu mu ngeri yokubijjawo, abasomi be bitabo obomulembe gguno bagamba nti "Yesu omutuufu ow'ebyafaayo" teyayogera ebigambo ebisinga ebyamuwandiikibwaako mu Bayibuli.. Ffe baani abaani abawoza nne Katonda ku bikki Yesu byeyakola oba byatayoogera? Omusomi w'ebitabo emyaka enkumi bbiri ejiyiseewo, asobola atya okumanya okusinga abaali naye, abalya naye, abaweereza naye, era abasomesebwa Yesu mwennyini?(Yokaana 14:26).

Lwaki ekibuuzo ku nkula, oba enfanana oba engeri Ya Yesu kikulu nnyo? Lwaki kyamugaso Yesu okuba oba obutabeera Katonda? Ensonga enkulu ekyasinze lwaki Yesu alina okuba Katonda eri nti, Ssinga ssi Katonda, okuffa Kwe tekwandisobodde kusasulira mutango gw'ebibi byensi yyona.(1 Yokaana 2:2). Katonda Yekka yasobola okusasula omutango ogutakkoma ng'ogwo.(Abaruumi 5:8; 2 Abakolinso 5:21) Yesu yalina okuba Katonda okusobola okusasula ebanja lyaffe. Yesu yalina okuba omuntu okusobola okufa. Obulokozi buliwo okuyita mu Yesu Kristu yekka. ObwaKatonda bwa Yesu ly'ekkubo lyokka ely'obulokozi. ObwaKatonda bwa Yesu y'ensonga lwaki yagamba nti "Nze kkubo, n'amazima, n'obulamu tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze."(John 14:6).

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Yesu Kristu Yaani?
© Copyright Got Questions Ministries