settings icon
share icon
Ekibuuzo

Katonda gyali?

Okuddamu


Okwebuuza oba Katonda gyali ky'ekibuuzo ekisinga obukulu omuntu yenna kyayinza okwebuuza. Endowooza ezikwata ku katondaa ziri buli wamu, naye okuddamu ekibuuzo : Ddala Katonda gyali kyetaagisa obudde obuwera, ebirowoozo bingi, n'obukakafu. Ekyenkomerero, byetulaba, abantu byebayitamu, ebyasayansi, ebintu ebyetaagisa okulowoozako ennyo, n’ebyafaayo, bituleetera okukakasa nti ddala Katonda gyali.

Ebiseera ebisinga, ekibuuzo kino kibuzibwa nti "Osobola okuwa obukakafu obwenkomeredde obulaga nti katonda gyali?" Ekizibu kiri nti newankubadde amazima nga go gatukiridde, tetusobola kusanga bukakafu wabweru webirowoozo ebisengekeddwa, wabweru wokubala. Kooti y'amateeka teyetaaga mazima gatukiridde, yensoonga lwaki ebusabuusa amazima agatukiridde netwala ekyo ekisubirwa.

Kiba kirowoozo kirema okusaba "obukakafu obulaga oba katonda gyali" nga tebujja kuganibwa muntu yenna. Abantu, newankubadde obukakafu, tebakola bwebatyo. Okusisinkana amazima, "nokukiriza amazima byanjawulo nnyo. Abo abamaliridde obutakiriza era tebanamatira birowoozo bisengeke nobukenkufu obungi. Eri oyo amaliridde obutakiriza, aba teyetaaga bukakafu, newankubadde nga busobola okumatiza omuntu omulara yena. Ebigendererwa by'omuntu bimuwalula nnyo okusinga amazima amagundiivu gaasanze.

Kitegeeza nti "Okukiriza" kwetaagisa—okukiriza okusukkuluma kw'ebyo ebiraga oba ddala katonda gyali. Amazima agatukiridde tegali mubusobozi bwaffe obwobuntu. Okwekubiira nokulonda ekintu ekimu kukirala ewatali nsonga, bijudde ebirowoozo byaffe ng'abantu. Wajja kubaawo omuwaatwa omunene wakati w'ebyo byetusobola okumanya, n'ebyo byetukkiriza. Bino bikwaata kw'abo ababusabuusa nabakiriza Katonda. Tetusobola kumanya buli kamu akatuukawo bwetutuula mu ntebbe, bwetuba tulya, oba nga tulinnya amadaala mu nju. Ekyo kitulaga ekigera ky'okukkiriza kyetulina. Tukola byetukola ngatusinziira kw'ebyo byetumanyi, newankubadde nga waliwo ebirala byetutamanyi kw'ebyo byetukola. Okukkiriza okwa Bayibuli kyekutegeeza, wamu nokukiriza oba Katonda gyali. Tukkiliriza mubimanyikiddwa, nebituleetera okukola, newankubadde nga amazima ag'enkomeredde, agatukiridde gonna tetugalina.(Beburaniya 11:6)

Oba omuntu akkiriza oba takkiriza nti Katonda gyali, okusalawo kw'ebyo byombi kuba kulina okubamu okukkiriza. Okukiriza Katonda tekitegeeza kukkiriza buli kimu, awatali kubuuza bibuuzo, oba okutegeera byokkiriza (Yokaana 20:29). Kyoka era okukkiriza katonda tekusobola kumalawo kuwakanyinyizibwa (Yokaana 5:39-40). Eky'obwenkanya kwekusonga kw'ebyo abantu byebayitamu, ebilowoozo ebisengekedwa, nobukakafu obusobola okukeberebwa mubuliwo, okusobola okufuna eky'okuddamu.

Katonda Gyali?- Abantu byebayitamu

Okukubaganya ebirowoozo ku kubeerawo kwa Katonda, ebiseera ebisinga kutandikira mu kukubaganya ebirowoozo okusengekeddwa. Awo kyona ekyogerebwa kiba kikola amakulu. Naye, ssi yengeri abantu gyebakolamu ebiseera ebisinga. Tewali atandika nga talina kyalowooza, ng'alinda kukola nga loboti gyebatademu ebirowoozo, ngatalina kululwe ye ng'omuntu kyalowooza ku nsonga eyo. Abantu bategeera ensi okuyita mw'ebyo ebibeetoolodde byebayitamu. N'olwekyo okutunulira ensonga ezikwata kukubaawo kwa Katonda, tutandika n'ebyo omuntu byayitamu mu bulamu. Awo netulyoka tutunuulira ebirowoozo ebisengeke okukebera ebyo omuntu byalowooza kw'ebyo byayitamu.

Obukakafu kukubaawo kwa Katonda buli mw'ebyo omuntu byayitamu buli lunaku (Abarumi 1:19-20; Zabuli 19:1; Omubuulizi 3:11). Kuno kwogatta okumanya enneeyisa entuufu. Kitwaliramu engeri ensi etwetolodde bwefaanana. Obw'obuntu bukiriza nti amazima, obulimba, okwagala, obukyayi, obulungi obubi, nebilara, byaddala era bilina kyebitegeeza. Abantu bangi okuva mu byafaayo baasalawo okukiririza mu mazima agasukkuluma kw'ebyo byetulaba era byetukwatako.

Ekituufu, ebyo byonna abantu byebayitamu tebimala, era tebitutusa ku kumanya okw'enkalakalira nti katonda gyali. Wabula, Katonda akozesa ebyo byetubikulirwa mw'ebyo byetuyitamu ng'enyaniriza (Okubikulirwa 3:20). Byetuyitamu bulijjo bilina okukatiiriza nti tulina okunonya okuddamu okusinga kw'ebyo byetuyitamu ( Matayo 7:7-8). Abo abebalama oba abanyooma okwaniriza okwo nebatanoonya bisinga kw'ebyo byebayitamu, tebalina kwekwaasa butamanya. ( Abarumi 1:18; Zabuli 14:1)

Ddala Katonda gyali?—Okusinziira ku birowoozo By'abantu ebisengekeddwa.

Ebirowoozo biri bisatu ebikyasinze okusengekebwa obulungi, ebikwata kukubaawo kwa Katonda.

1. Ensi gyeyava n'engeri ensi gyeyasengekebwa — Cosmological Arguments

2. Okuba nti buli kimu kyasengekebwa n'ekigendelerwa —Teleological Arguments

3. Omuntu okuba ng'amanyi kiki ekirina okuba ekirungi ekikirizibwa, oba ekibi—Moral Argument

Ekirowoozo ekisooka, kitegeeza nti, buli ekitukawo kirina ekikiretera okutukawo, nekireeta nakyo waliwo ekyakireeta. Akajegere k'ebireeta okubaawo tekasobola kweyoongerayo mu butakoma, okujako nga tekaatandika. Ekirowoozo kino kigamba nti waliwo ekyaliwo( ekyatandika oba okyaretera ebirala) nga tekirina kyakireta. Ensi gyetulimu yatandikibwa era eyina oluberyeberye. Kitulaga nti ensi bweba nga eyina entandiikwa, Katonda ataliina ntandikwa, ataatondebwa yagitonda. Oyo Katonda alina ekigera kyabuli kintu kyona ekilara, yeyavaako ebyo n'okubaawo kwaffe.

Ekirowoozo ekyokubiri, kikebera engeri ensi gyefaanana, gyeyakolebwaamu, ebisiinde byemunyenye ebinene, endaga buttoned, obutundu obusirikitu - buli kimu kirabika nga kyatekerwatekerwa olw'ensonga. Enambika y'ekirowoozo eno nkulu era y'amaanyi nnyo nti nabagamba nti Katonda taliiyo buli kisera balemelerwa okunnyonnyola entegeka y'ensi, n'endabika y'ensi n'ebigirimu.

Tewali kubutundutundu obusirikitu oba amaanyi masirikitu amanji, kiraga nti bilina okusengekebwa mungeri gyebiri. Kyoka, singa tebiri nga bwebiri, obulamu tebwandisobose. Ebintu ebitakyuka mu muwendo oba sayizi(soma size) bingi, bikwatagana n'ebyo ebitayinza kutegerebwa kumalibwaayo bwongo bwamuntu, okuletera obulamu okubaawo, ate nga bwa ddala. Sayaansi tatunulirangako bulamu kuva mu butaliiwo kyoka ngalaga obuntu obulamu obisirikitu obuzibu okutegeera. Abavumbula ebyafaayo abalaba ebigambo ebigamba nti" Ndi wano" ku bisenge by'empuku ezedda bandigambye anti ago gali magezi g'abuntu amanji. Ng'ebyo obittaddawo, endaga butonde y'omuntu ekikirira enziimba essukuluma ku bayinginiya abakyasinze. Obuzito bw'obukakafu buno, okuyita mu nsengeka y'endowooza z'abantu, ewagira ekirowoozo kimu nti, waliwo eyatekkatekka ebintu bino nga mugezi nnyo era nga ye Katonda.

Endowooza eyokusatu etunulira ebintu nga; obirungi, n'ebibi, Enneyiisa ekilizibwa mu bantu, nebirala ebiringa ebyo. Kirina okukirizibwa nti ebirowoozo bino byonna byogera ku kki "ekilina okubaawo" so ssi "ekiliwo". Enkola mumpisa ezikilizibwa zawukana nnyo nendowooza ey'obutaba na kisa, okweyagaliza wekka, esubirwa mu kitonde ekisubirwa okukola kyona ekisoboka okusobola okuberawo. Okuba nti omuntu alowooleza mundowooza ezempisa, ezitasobola kwatwaako wadde okulabibwa kyewunyiisa. Okusukuluma awo, ebilowoozo byabantu bona ebikwata ku ki ekikilizibwa, naki ekitali kirungi, byebimu, okuva mubyafaayo n’obuwangwa bwona.

Bwetweyongerayo, okukubaganya endowooza ku mpisa kki ezikilizibwa twesaanga mu masangazira. Buli muntu, kisoboka okuba ng'alina ebirowoozo ebyawukana, ku mpisa ki entuufu, era n'olweekyo ekirowoozo wano kiba tekkirina makulu okujjako ekirowoozo ekigamba nti abantu bonna batekebwamu enkola y'emu era nga tekyuuka. Abantu byebayitamu bitulaga nti "Empisa za bantu zilina kyezitegeza. Endowooza ekola amakulu esinga, lwaki abantu balowooleza mu mpisa ezikirizibwa n'ezitakirizibwa, ngera basa kimu kubintu byebakkiriza okuba ebirungi nebitali birungi, eri nti, waliwo eteeka ely'empisa z'obuntu elyatuweebwa oyo awa ki ekirungi, ekikkirizibwa naki ekibi ekitakkirizibwa era nga ye Katonda.

Katonda gyali? Ebya Sayaansi w’obuntu

Ensengeka y'endowooza zonna wagulu zivugibwa na kulaba. Endowooza, okugeza, ng'egamba nti, ensi yatandika nnga akasirikitu Kamu akava mu butakoma, akaayabika era nga kekavaamu amaanyi gonna getulaba nna byonna (Big Bang theory), kulaga ekyenkomeredde obukakafu okuva mu sayaansi nti ensi yatondebwa era yalina entandikwa. Enkula y'endaga butonde(Soma DNA), obukakafu bwonna obuzuuliddwa obusobola okukeberebwa bwona busoonga ku Mutoonzi ayogerebwaako mu Baibuli era bukontana nenyinyonyola zona endala, ng'eraga nti ensi terina ntandikwa( Yaliwo nga nemirembe teginabaawo)

Abazuula abyafaayo ebyedda bawagira Bayibuli. Abantu, ebyatukaawo eby'enjawulo, ebifo, ebyogerwako mu byawandiikibwa mu Bayibuli bize bikakasibwa n'ebyo ebize bizulibwa, nemunaku zaffe. Ebisiinga bize nga abo abatakiriza byawandikibwa bamaze okusalawo nti Bayibuli ya bulimba (Birowoozo bya muntu).

Ebyafaayo, n'ebyawandikibwa, kulwabyo , nabyo biwagira okubaawo kwa Katonda. Eky'okulabirako yengeri Bayibuli gy'ekuumiddwa okuyita mumirembe gyona. Bwokwaanaganya ebyawandiikibwa ebiliwo, n'ebyo ebyatuukangawo biretera ebyawandikibwa okuba nga bikirizibwa. Abakristaayo abayudaaya engeri gye baawalura nokukyusa ebyobuwangwa, empisa z'abantu, eddembe ly’obuntu, okuzaalibwa kwa sayaansi omugya-owomuleembe guno, nabyo byongere okusonga ku mazima.

Ddala Katonda gyali – Katonda muffe( Soma Katonda ali muffe)

Buli mutendelera kubwaagwo wagulu, kisaawe ekinene eky'ebyensoma nga kirina ebitabo nkumi na nkumi. Kyoka ng'okubaawo kwa Katonda kusiinga okulagibwa okuyiita mungeri ebintu ebyenjawulo abantu abenjawulo byebayitamu. Eky'okulabilako; Kyiyinza obutasoboka "kumatiza" bantu balala nti oli musanyufu, naye ekyo tekigyaawo mazima nti oli musanyufu. Ekyo wabula tekitegeeza nti omuntu kyawulira munda kizitowa okusinga amazima agalabibwako, naye amazima amekusiffu tegayinza kutegerekeka mangu, gawagirwa n'ebyo omuntu byayitamu oba byawulira. Obulamu obukyusiibwa, empulira kubintu ebyenjawulo enongoosemu, okudibwaamu kwetufuna bwetusaba(prayer), byona bitundu ku ngeri gyetuwulira era gyetutegeera nti katonda gyali.

Engerekera y'omuntu (Sense) okwetegeerera amazima, yengeri esiinga okutulaga nti Katonda gyali. Kigendelerwa kya Katonda, abantu bona okuba nga basobola okuwulira era nga bategeera amazima. Katonda yajja ku nsi mu mubiri, ng'omuntu, (2 Abakolinso 4:6), buli muntu asobole okuba n'enkolagana ey'obuntu naye.( John 14:6). Abo abanoonya Katonda mu bwenkanya balimulaba( Matayo 7:7-8), era kilibaviiramu okubeera n'omwoyo omutukuvu mubbo enaku zonna.( Yokaana 14:26-27).

Ekibuuzo Ddala Katonda gyali, n’olweekyo, tekyetaaga kuddamu ng'okozesa amazima amatufu ag'enkomeredde, naye tusobola okusongera abantu eri obukakafu obusiinga okuzitowa, nga tubasongera webuyiinza kubatwala. Okukkiriza nti Katonda gyali, ssi kuggala maaso n'obukira mw'ebyo ebitayiinza kutegerebwa ebiri mu kizikiza. Wabula kukkiriza okwesiga okutambula ekigere kimu ku kimu okuva mu kizikiza okugenda ewali ekitangaala, eyo ebintu ebisiinga gyebisola okutegerebwa okusinga.

English



Ddayo ku Luganda Ewasokerwa

Ddala Katonda gyali? Waliwo obukakafu obulaga ddala oba Katonda gyali?
© Copyright Got Questions Ministries